Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni abikudde ekyama lwaki yavaayo okwekeneenya ennyo ebyokwerinda mu ggwanga lino n’ebitongole ebikuumaddembe.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri Palamenti olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu (20, June, 2018) ku mbeera y’ebyokwerinda mu ggwanga yagambye nti okuttibwa kwa Maj. Mohammed Kiggundu gwe batta emisana ttuku mu 2016 eyali bba wa Maama Fiina ne AIGP Andrew Felix Kaweesi,  kyamuwaliriza okutandikirawo okwekeneenya abantu bonna mu bitongole ebikuumaddembe.

Omugenzi AIGP Andrew Felix Kaweesi
Omugenzi AIGP Andrew Felix Kaweesi

Museveni agamba nti obumu ku bumenyi bw’amateeka obugenda mu maaso mu ggwanga bwenyigiddwamu n’abamu ku bantu abali mu bitongole ebikuumaddembe.

Olunnaku olw’eggulo, yawadde ensonga 10 eziteekeddwa okuteekebwa mu nkola okusobola okutangira obumenyi bw’amateeka.

Ekyabadde mu Palamenti
Ekyabadde mu Palamenti

Museveni yasuubiza okulwanyisa obugajjavu mu poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe, okuwandiisa emmundu n’ebinkumu by’abantu bonna abakozesa emmundu mu ggwanga lino bissibwe mu kompyuta, bannyini bidduka bagenda kulagirwa okugula nnamba z’emmottoka ne pikikpiki empya ezikolera ku kompyuta ng’abobuyinza basobola okulondoola ebidduka  n’okulaba buli we ziba zigenze nga kijja kuba kyangu okuzuula eyatambuza abamenya amateeka mu ggwanga lyona.

Ekyabadde mu Palamenti
Ekyabadde mu Palamenti

Pulezidenti Museveni era azzeemu okukatiriza nga Gavumenti bwe yaweze eky’abavuzi ba dobaboda okwambala ebigoye ebibikka emitwe gyabwe era singa omuntu yenna akwattibwa, agenda kuvunaanibwa, Okugula kamera n’okuzissa ku nguudo okuketta abamenya amateeka, Pulezidenti agambye nti gavumenti egitadde ku mwanjo nnyo.

Ku nsonga y’okwekeneenya emisango n’okunoonyereza, Museveni agambye nti abasirikale balina okweyambisa nnyo amaaso gabwe n’okutumbula enkolagana n’abantu babuligyo.