Omulamuzi wa Buganda Road Robert Mukanza azzeemu okusindiika ku Limanda abantu 9 abakwatibwa ku by’okuwaamba n’okutta omukyala Suzan Magara.

Omulamuzi okwongezaayo, kidiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Patricia Cingitho okutegeza kkooti okubongera obudde kuba bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza kwabwe.

Abagambibwa okutta Magara
Abagambibwa okutta Magara

Omulamuzi ayongezaayo okutuusa nga 12, July, 2018, era bonna baziddwayo ku Limanda e Luzira n’okwongezaayo ekiragiro kibakuntumye ku musajja Patrick Kasaija amanyikiddwa nga PATO akyali mu ggwanga erya South Africa.

Mu kkooti, abasibe akabidde omulamuzi nti abamu ku benganda zabwe omuli abakyala n’abaana bakyabuze bukya bakwatibwa era kkooti, etekeddwa okuyingira mu nsonga yabwe.

Omulamuzi Mukanza mukwanukula alabudde abasibe okufuna munnamateeka wabwe ku nsonga y’abantu babwe okubuzibwawo, asobole okuzitwala mu kkooti enkulu.

Oludda oluwaabi lugamba nti Yusuf Lubega ng’avuga bodaboda, Hussein Wasswa nga musuubuzi, Muzamiru Ssali myaka 27, ng’avuga bodaboda, Hajara Nakandi nga mussomesa.

Abalala okuli Abubaker Kyewolwa nga musuubuzi, Mahad Kasalita nga Imam ku muzikiti gwa Usafi, Hassan Kato Miiro ne Ismail Bukenya, benyigira mu kuwamba Magara myaka 28 nga 7, February, 2018, nattibwa era omulambo gwe ne gusulibwa e Kigo mu Disitulikiti y’e Wakiso nga 27, February, 2018 era bonna abakwatibwa bagulwako gwa butemu.