Ekibadde ku kirabu Amnesia mu Kampala mu kiro ekikeseza olwa leero, abadigize baakulwawo nnyo nga okukyerabira.

Omuyimbi Sheebah Kalungi ayongedde okulaga nti y’omu ku bakyala mu Uganda abalina talenti y’okuyimba n’okukyamula abantu.

Sheebah asobodde okukyamula ekifo kyona olw’ennyimba ze omuli Beera Nange, John Rambo, Mummy Yo, Weekend, Farmer Nkwatako n’endala era abadigize bonna bavuddeyo nga bakiriza nti omwana alina Work.

Mu Kampala, Kirabu Amnesia kye kifo buli mudigize kye yegomba okuliira ssente kuba kirina buli kimu omuli abawereza abalungi, eby’okunywa bya layisi, ba DJ abalungi mu Kampala yonna ate buli sabiti baleeta abayimbi ne bannakatemba abenjawulo okusanyusa abadigize.