Poliisi y’e Kabale ekutte omuyimbi myaka 27 ku by’okusobya ku mwana w’essomero atemera mu gy’obukulu 14.

Robertson Nasasira amanyikiddwa ennyo e Kabale nga Robie Rab omutuuze ku kyalo Nyabikoni mu ggombolola y’e Kabale yakwattiddwa.

Okusinzira ku Poliisi, nga 4, July, 2018, Nasasira ng’ali ne mukwano gwe aliira ku nsiko basaanga omuyizi wa Kabale Secondary School, akawungeenzi nga bateereddwa okudda awaka nga balina emmotoka namba AUP 605P ekika kya Rav 4, nga Blue ne basaba omuwala okumutwalako.

Poliisi egamba nti, webatuuka mu kkubo, basiba omwana amaaso ne bakyusa n’oluggudo, natwalibwa okumpi ne nnyanja Bunyonyi, Nasasira ne mukwano gwe ne basobya ku mwana, oluvanyuma ne bamusuula ebbali w’ekkubo.

Elly Maate
Elly Maate

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, owa bodaboda yasobola okutaasa omwana eyali esuuliddwa mu nsiko, kyoka abakikola omu Nasasira yakwatiddwa wadde nga mukwano gwe, akyalira ku nsiko.

Robie Rab abadde yakava e Dubai mu United Arab Emirates era kigambibwa nti bamusindikiriza okudda mu Uganda olw’okunywa ebiragalaragala.