Omusirikale wa Poliisi akwattiddwa ku by’okutta omusiisi wa Chapati mu ggombolola y’e Sironko mu disitulikiti y’e Sironko.

Omusirikale emirimu gye agitambuliza ku Sironko Central Police Station (CPS) era kigambibwa nti yakubye esasi Richard Matunda, 23 abadde omutuuze we Busukuya mu ggombolola y’e Bukulo ekyaviriddeko okufa kwe.

Kigambibwa Matunda kati omugenzi yabadde abanjibwa ssente 15, 000 kyoka Poliisi bwe yagenze okumukwata nafunvubira, nawalira  ekyawaliriza omusirikale okumukuba esasi olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga mu paaka ya Takisi e Mbale gy’abadde asiikira chapati.

Ambulance eyatambuza omulambo okuva ku ddwaliro e Mbale
Ambulance eyatambuza omulambo okuva ku ddwaliro e Mbale

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Elgon, Suwed Manshur akakasiza okukwatibwa kw’omusirikale n’okutibwa kwa Matunda era omusirikale aguddwako gwa butemu.

Matunda yafudde bwe yabadde atuusibwa mu ddwaliro lye Mbale okufuna obujanjabi nga kivudde ku musaayi omungi ogwamuvuddemu.

Okusinzira ku muganda w’omugenzi Geofrey Matunda, muganda we abadde abanjibwa ssente 15,000 nga kivudde ku ssimu gyeyagula emitwalo Shs35,000 nawaayo shs 20,000 era Poliisi yabadde emukwata lwa banja 15,000 ezasigalayo ku ssimu.