Omukyala ateberezebwa okuba omuyizi ku yunivaasite y’e Makerere, attiddwa oluvanyuma lw’okumusobyako era omulambo gwe gusuliddwa okumpi ne yunivaasite ku Livingstone Hall.

Okusinzira ku batuuze, omulambo tegusangiddwako kiwandiiko kyona era gwazuliddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu ku makya.

Omulambo gwasangiddwako eby’okulya n’ebyokunywa okuli chipusi ne juyisi, ekiraga nti bamuzindukiriza ng’ava okufuna ebyokulya ekiro ku Lwokubiri.

Okusinzira kw’akulira ebyokwerinda ku yunivaasite y’e Makerere Enoch Abeine, Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ebikwata ku mugenzi kuba mu kiseera kino tebayinza kumanya oba yabadde muyizi ku yunivaasite.

Abeine era agambye nti omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mulago nga Poliisi bwegenda mu maaso n’okunoonyereza abatemu.

Kubigambibwa nti omukyala bamusobezaako oluvanyuma nattibwa, Abeine agambye nti balina okulinda alipoota okuva mu basawo, okusobola okakasa ensonga eyo.