Omuyimbi Sheebah Kalungi omu ku bakyala abayimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba akomekerezza okuzimba ennyumba amatiribona mu bitundu bye Munyonyo.

Sheebah ng’ayambibwako manejja we, Jeff Kiwa asobodde okuzimba ennyuma okulaga eggwanga lyona n’abayimbi bonna nti asobodde okufuna mu talenti y’okuyimba.

Olw’ennyimba ze omuli Beera Nange, Muwe, Mummy Yo, Try My Love, John Rambo, Weekend, Twesana, Kisasi Kimu, Ndiwanjawulo n’endala, Sheebah zimufudde omukyala owenjawulo mu ggwanga era ayongedde okufuna obuwagizi.

Sheebah Kalungi
Sheebah Kalungi

Mu Uganda, kati y’omu ku bakyala mu kisaawe ky’okuyimba abalina ennyumba zabwe.