Omubaka Gideon Onyango w’essaza lya Samia Bugwe North, atwaliddwa mu kkooti lwa kugaana kulabira omwana gwazaala.

Omukyala Juliana Ayinembabazi, omutuuze w’e Bweyogere yaduukidde mu kkooti ng’alumiriza omubaka Onyango okugaana okusindiika obuyambi ku mwana gwe yamuzaalamu, akunukkiriza emyaka ebiri (2).

 

Omukyala Juliana Ayinembabazi ekifaananyi kya Bukedde
Omukyala Juliana Ayinembabazi ekifaananyi kya Bukedde

Ayinembabazi agamba nti “Onyango yankwana mu 2013 nga nkola mu bbaala eriko n’ekirabo ky’emmere mu kibuga ky’e Mukono ne twagalana okumala emyaka mingi. Mu 2017 ng’amaze okunfunisa olubuto yagenda e Busia okunoonya akalulu ka paalamenti era bwe yava mu kampeyini ng’akomyewo ne mmutegeeza nga bwe nnali ndi olubuto lwe n’alwegaana, bwe nnazaala, yaggya ne yeekebejja omwana yenna n’afundikira ng’anzigye mu kazigo ke nnali mbeeramu e Mukono n’antwala e Bweyogerere n’ampangisirizza n’ennyumba ya mitwalo 40 buli mwezi”.

Omukyala abadde mu maziga agamba nti bwe waayita emyezi mwenda, y’ajja ekiro n’atwala omwana nga n’okuyonza akyayonka era omusango nagutwala ku Poliisi era nga 14, Desemba, 2017, bankubira essimu ku CPS mu Kampala ne banziriza omwana wange.

Ayinembabazi agamba nti okuva nga 14, Desemba, 2017 nga bali ku CPS, Onyango tadangamu kumuwa ssente okulabirira omwana.

Ensonga z’omukyala Ayinembabazi, yazitwala mu kkooti e Mukono wansi w’omulamuzi Pamela Bomukama kyoka omulamuzi namusindiika mu kkooti e Busia mu kitundu, omubaka Onyango gyabeera.