Omuyimbi Lydia Jazmine ayawukanye ne manejja we omupya Robert Kampala.

Okusinzira ku mawulire okuva mu mikwano gya Jazmine, Robert asukkiridde obulimba era y’emu ku nsonga lwaki baayawukanye.

Kigambibwa Robert yali yasuubizza okuteeka ssente mu muziki we (Jazmine) kyoka alemeddwa okumuyambako okusobola okututumuka mu kisaawe ky’okuyimba.

Manejja Kampala (mu katono) ne Jazmine
Manejja Kampala (mu katono) ne Jazmine

Mungeri y’emu kigambibwa mbu Robert abadde manejja mu by’okuyimba ate n’okufukirira ekitone kya Jazmine.

Mu kiseera kino Jazmine anoonya manejja mulala okudda mu bigere bya Robert Kampala.

 Jazmine ne Bushingtone

Jazmine ne Bushingtone

Kinajjukirwa nti Jazmine yafuna obutakaanya ne Bushingtone eyali manejja we ne bawukana, oluvanyuma nafuna Robert Kampala kyoka era bawukanye.