Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White abikudde ekyama lwaki yasembeza omukyala Zari Hassan ku Podium.

Bryan White yatandikawo ekibiina ekya Bryan White Foundation okuyamba abantu okwetandikirawo emirimu, okusomesa abavubuka okwewala ebikolwa ebikyamu omuli okunywa ebiragalaragala nga enjaga, okusomesa abantu engeri gye bayinza okwekulakulanya n’ensonga endala.

Bryan White
Bryan White

Wabula bangi ku bannayuganda n’okusingira ddala mu Kampala bagamba nti Bryan White ali mu kweraga era ebirungi byona byakoze, bangi tebabiraba era beyambisa emitimbagano gya yintanenti omuli Face Book okuzalawa byonna by’akola.

Ku nsonga ezo, Bryan White agamba nti Zari y’omu ku bakyala abamanyiddwa mu mawanga agenjawulo n’okusingira ddala mu Africa ate alina abagoberezi bangi ku mitimbagano omuli Face Book, Instagram, Twitter era okumusembeza mu kibiina kya Bryan White Foundation, kigenda kuyamba nnyo ebintu ebikolebwa mu kibiina okumanyika mu bantu n’okusembeza abantu abalala abayinza okubegatako okuyamba eggwanga.

Zari Hassan
Zari Hassan

Mungeri y’emu Bryan White asambaze ebyogerwa nti ye ne Zari baagalana. Agamba nti abantu baddembe okwogera kuba tayinza kubalemesa kyoka tewali muntu yenna ayinza kumuggya ku mulamwa.

Mu kiseera kino, Bryan White n’abakozi bonna mu kibiina kya Bryan White Foundation betekateeka kugenda mu bitundu bya Arua gye bagenda okumala emyezi 4.

 Ebimu ku bintu ebitwalibwa

Ebimu ku bintu ebitwalibwa

Bagenda kweyambisa ebanga eryo okusomesa abantu ebyemikono, okusomesa abavubuka okwewala obubbi, okunywa enjaga n’okubawa entandikwa.

Bryan White agenda kubatwalira ebintu ebyenjawulo omuli ssukkali, engoye, ssabbuni, butto n’ebintu ebirala.

 Ebimu ku bintu ebitwalibwa

Ebimu ku bintu ebitwalibwa

Eddoboozi lya Bryan White