Munnamateeka wa Patrick Agaba eyakwatibwa ku by’okuwamba n’okutta Susan Magara, atabukidde mu kkooti ya Buganda Road enkya ya leero, asabye omulamuzi, omuntu we, aggibwe kwabo ab’okusindikibwa mu kkooti enkulu, okutandika okwewozaako.

Agaba yakwatibwa mu ggwanga erya South Africa kyokka eby’okumukomyawo mu Uganda avunanibwe tebinaggwa.

Agaba avunanibwa ne banne omuli Abas Buvumbo, Yusuf Lubega, Hussein Wasswa, Muzamiru Ssali, Hassan Kato Miiro, Hajara Nakandi, Abubaker Kyewolwa, Mahad Kasalita ne Ismail Bukenya.

Enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Patricia Akello, bategezeza omulamuzi nti bakomekkereza okunoonyereza era bafunye ebiragiro okuva eri mukama we “Ssaabawabi wa Gavumenti” abantu bonna abakwatibwa, okusindikibwa mu kkooti enkulu.

Wabula munnamateeka wa Agaba, Evans Ochieng, atabukidde mu kkooti era ategezeza omulamuzi Robert Mukanza nti kimenya amateeka omuntu yenna okusindikibwa mu kkooti enkulu, nga tabadde mu kkooti esookerwako kuba omuntu we, akyali mu ggwanga erya South Africa.

Omulamuzi, ayongezaayo omusango ogwo okutuusa ku Mmande nga 20, November, 2018, okusalawo ku nsonga eyo, oba Agaba aggibwa kwabo, abateekeddwa okusindikibwa mu kkooti enkulu.