•  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  

Poliisi mu Kampala ekutte abantu 4 abagambibwa okulemberamu, okutiisatiisa abasuubuzi okubatusaako obulabe singa balemwa okusindika ssente.

Okusinzira ku Poliisi, abakwatiddwa balina ekisinde kyabwe kya “The People’s Agency” era babadde basasaanya ebibaluwa, okulabula abasuubuzi okusindika ssente oba okubatusaako obulabe kuba balina emirimu gye balina okutambuza obulungi.

Poliisi egamba nti John Mwanje yakulembera akabinja ka The People’s Agency ne banne okuli Kenneth Sebaggala ow’e Nansana, John Bosco Kimera awangalira mu ggwanga erya Sweden, Douglas Kakande amanyikiddwa nga Darion omutuuze we Masanafu.

Abalala kuliko Herbert Mwanje, Allan Kitonsa ne  Herbert Muwonge avuga bodaboda era yabadde, akozesebwa okutambuza ebibaluwa.

Omwogezi w’ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango Vicent Ssekate, agamba nti akulembera akabinja, John Mwanje bakyamunoonya era ateekeddwako obukadde 20 obwa Uganda eri omuntu yenna ayinza okutegeza ku Poliisi nakwatibwa.

Abakwatiddwa


 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •  
 •