Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga asabye ebitongole ebikuume ddembe okunoonyereza ekigendererwa ky’abantu, abasasaanya ebibaluwa okuteereddwa amannya gabwe nti abalindiriddwa okutibwa essaawa yonna.

Okusinzira ku bibaluwa ebyasuulibwa, kuliko abantu 16 abalindiriddwa okutibwa omuli mukuuma ddamula Charles Peter Mayiga, Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine,  Gerald Karuhanga, Mubarak Munyagwa, Kasibante Moses, Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, Minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya-Turomwe, amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Patrick Onyango n’abalala.

Wabula Katikkira Mayiga bw’abadde ayogerako eri ababaka ba Palamenti mu lukiiko lwa Buganda enkya ya leero ku Bulange Mmengo, asabye ebitongole ebikuuma eddembe okunoonyereza abasasaanya ebibaluwa ebyo.

Mungeri y’emu asabye Gavumenti okuwa abantu bonna obukuumi okusobola okutambuza emirimu gyabwe nga tewali kutya kwona.

Katikkira Mayiga era agumizza abantu ba Kabaka nti wadde atiisibwatisibwa, tewali muntu yenna ayinza kumulemesa kutambuza mirimu gye n’okuweereza Omutanda.