Kyaddaki omuyimbi Rema Namakula avuddemu omwasi ku bigambibwa nti bba Eddy Kenzo yazeemu okumutikka olubuto.

Okuva ku nkomerero y’omwaka oguwedde ogwa 2018, amawulire gabadde gayitingana nti Rema ali lubuto era y’emu ku nsonga lwaki talabika nnyo mu bantu ebiseera bino.

Wadde ebigambo bibadde byogerwa, Rema abadde tanavaayo okwogera ku nsonga eyo.

Kenzo ne Rema
Kenzo ne Rema

Wabula Rema bw’abadde ayogerako naffe agambye nti, “Sibimanyi era mulinde time will tell kuba olubuto tosobola kulukweka era mwemba ndi lubuto, abantu baggya kululaba“.

Ate bwabuziddwa ebikwata ku mbaga yabwe, Rema agambye nti, “munsabire nnyo naye ku lwa Katonda, nina esuubi kuba buli mukyala yegoomba embaga“.

Kenzo alina abaana babiri abamanyiddwa nga Rema yakazaala omwana omu.