Poliisi y’e Mukono ekutte Paasita Fred Tabu myaka 50 owa  ow’ekkanisa ya Great Hope Ministries e Mukono ku by’okufera abantu ssente.

Abakyala abeegattira mu kibiina ekiwola n’okutereka ssente ekya ‘Teap Uganda’ bamulumiriza Paasita Tabu okutwala ssente zabwe nga yeefuula azitereka kyokka ng’azikozesa bibye oluvanyuma ne yekweka.

Bagamba obukadde busukka 39 era yakwattiddwa mu kiseera kino ali mu kaduukulu ka poliisi y’e Seeta ku misango gy’okufera ssente.

Omuwandiisi w’ekibiina Teap Uganda, Hasifa Namuyomba agamba nti baatandika okumuteresa ssente zaabwe okuva mu Janwali, 2018 nga baali bakuzifuna  mu Desemba wa 2018 kyokka Paasita Tabu nabulawo.

Ku nsonga ezo, Ronah Nabirye Bamwite akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Seeta agumizza abakyala okukkakkana era asuubiza nti Paasita Tabu wakutwalibwa mu kooti avunanibwe singa alemwa okukomyawo ssente.

Ekifaananyi kya Bukedde.