Abakulu abatunulira ensonga z’obufuzi bogedde ekyawalirizza omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okugaana okuwereza mu Gavumenti ya Dr Kizza Besigye eya People’s Government.

Okusinzira ku ssentebbe wa Forum for Democratic Change (FDC) Wasswa Biriggwa, Bobi Wine yabadde aweereddwa obwa Minisita w’ensonga z’ebyokwerinda.

Biriggwa agamba nti Bobi Wine yagaanye obuvunanyizibwa kuba alina emirimu emingi gyakwasaganya mu kiseera kino.

Wabula abamu ku basengejja ensonga bagamba nti Bobi Wine okugenda mu Gavumenti ya Dr Besigye, kyabadde kigendereddwamu okumunafuya mu byobufuzi.

Mungeri y’emu bagambye nti Bobi Wine kirabika alina ekigendererwa okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu 2021 nga yabadde alina okwesonyiwa katemba wa Dr Besigye.

Wabula Bobi Wine tanaba kuvaayo okwogera ku nsonga eyo kuba ayinza okuba alina ensonga ze lwaki yagaanye obwa Minisita.