Omuyimbi Bebe Cool avuddeyo ku nsonga za muyimbi munne Jose Chameleone okulangirira nti 2021 agenda kwesimbawo ku bwa Loodi meeya bwa Kampala.
Bebe Cool agamba nti abadde ne Chameleone emyaka egisukka 20 okuva mu ggwanga erya Kenya gye batandikira okuyimba kyokka tawulirangako nti Chameleone azzeeyo ku ssomero oba alina empapula zonna ez’obuyigirize.

Mungeri y’emu agambye nti ye mwetegefu okuwagira muyimbi munne Chameleone ku bwa loodi meeya kyokka alina okumuwa obukakafu nti yasoma kuba ayinza okuwagira omuntu atalina kiwandiiko kyonna, ekintu ekiswaza.
Ku nsonga eyo, Chameleone agamba nti omuntu yenna alina okubusabuusa ku buyigirize bwe, waddembe okugenda mu kitongole kya UNEB ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga okumunonyerezaako.