Poliisi y’e Rukiga ekutte omusomesa ku by’okusobya ku mwana omuto.
Denis Atuhire nga musomesa ku Rise and Shine primary school ku kyalo Kamwezi mu disitulikiti y’e Rukiga yakwattiddwa.
Okusinzira ku Poliisi, nga 14, March, 2019 ku ssaawa mukaaga ezomutuntu, Omusomesa Atuhire yakwata omuwala omuto, atemera mu gy’obukulu 16, namutwala mu nsiko okuva mu maka g’abazadde be, era maama w’omwana yamusanga mu nsiko nga yerigomba ne muwala we.

Maama yakuba enduulu omusomesa kwekudduka era bamukwattidde ku kyalo Ngoma, poliisi y’e Kizinga nakwasibwa Poliisi y’e Rukiga.
Mu kiseera kino Omusomesa Atuhire ali mikono gya Poliisi ku misango gw’okujjula ebitanajja era omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza.

Eddoboozi lya Maate