Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga, Obiga Kania abikudde ekyama nti omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine aguddwako emisango emirala.
Minisita Kania agamba nti essaawa yonna Bobi Wine alina okweyanjula ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli okugibwako sitetimenti.

Minisita Obiga Kania
Minisita Obiga Kania

Bwe yabadde mu Palamenti olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Minisita Kania yalemeddwa okutegeeza Palamenti emisango egivunaanibwa Bobi Wine mu kiseera kino, ekyatabudde ababaka ba Palamenti nga bakulembeddwamu eyali akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti omukyala Winnie Kiiza.
Ababaka bagamba nti Gavumenti ekola buli kimu kutyoboola eddembe lya Bobi Wine, ekintu ekimenya amateeka.