Omuserikale mu kitongole ekikuumi eky’obwananyini Ronald Obangakene myaka 24 asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 13, May, 2019 ku misango gy’okutta Dokita Catherine Agaba ow’eddwliro lya IHK e Namuwongo.

Obangakene asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ow’eddala eryokubiri John Robert Okipi owa kkooti y’e Makindye era aguddwako emisango ebiri omuli ogw’okutta omuntu n’okubisa eryanyi.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Batson Baguma, nga 12, April, 2019, Dr. Agaba ng’akomyewo awaka okuva ku mulimu gye, Obangakene yamukwata akabadiya nga yakayingira ku geeti mu kikommera mwasula namuttirawo era oluvanyuma omulambo gwe nagusula mu kinnya kya kazambi mwe gwazuuliddwa ku mmande ya sabiti eno nga 22, April, 2019 nga guvunze ku mayumba agabangisibwa aga GPS Apartments e Muyenga mu munipaali y’e Makindye.

Obangakene bwe yabadde atwalibwa e Luzira
Obangakene bwe yabadde atwalibwa e Luzira

Omulamuzi Okipi teyaganyizza Obangakene kubaako na kyanyega kuba ali ku misango gya naggomola nga kkooti ye terina lubuyinza kuwulira misango gyakikula bwegityo.

Baguma yasabye omulamuzi Okipi obudde basobole okomekereza okunoonyereza, ekyawaliriza omulamuzi okwongezaayo omusango ogwo okutuusa nga 13, May, 2019.