Famire y’omugenzi Dr Catherine Agaba myaka 27 eyattiddwa abadde omukozi ku IHK sibamativu n’engeri omuntu waabwe gye yattiddwamu.

Okusinzira ku Poliisi, nga 12, April, 2019, Dr. Agaba ng’akomyewo awaka okuva ku mulimu gye, omuserikale mu kitongole ekikuumi eky’obwananyini Ronald Obangakene myaka 24 yamukwata akabadiya nga yakayingira ku geeti mu kikommera mwasula namuttirawo era oluvanyuma omulambo gwe nagusula mu kinnya kya kazambi mwe gwazuuliddwa ku mmande ya sabiti eno nga 22, April, 2019 nga guvunze ku mayumba agabangisibwa aga GPS Apartments e Muyenga mu munipaali y’e Makindye.

Dr Catherine Agaba
Dr Catherine Agaba

Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu mu kuziika Dr Agaba ku kyalo Ntura mu ggoombolola y’e Kashari mu Disitulikiti y’e Mbarara aba famire, baalaze obutali bumativu engeri omukuumi yekka gyayinza okutta omwana waabwe.

Abakungubazi nga bakulembeddwamu kojja w’omugenzi Emmanuel Mbarebakyi bawanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ssaako n’ebitongole ebikuuma eddembe, okunoonyereza abatemu bonna abenyigidde mu kutta omuntu waabwe.

Famire egamba nti omukuumi yekka Obangakene talina nsonga yonna lwaki Dr Agaba yattiddwa nga kirabika mulimu, abakibaddemu abakyekwese.

Ate taata w’omugenzi Fred Rutagumba atabukidde ekitongole ekya Poliisi okulwawo okunoonya abenyigidde mu kutta muwala we n’okuzuula omulambo, ekyawaliriza amaggye okuyingira mu nsonga.