Kkooti mu ggwanga erya Kenya esindiise Paasita Charles Nyanchwara mu kkomera okusibwa emyaka 25 lwa kuddda ku muwala tanetuuka namusobyako oluvanyuma n’amutta emyaka 8 egyakayita.

Paasita Nyanchwara kigambibwa yasooka kusingisibwa gwa kuganza omwana w’essomero mu siniya ey’okuna (S4) ku myaka emito kyokka oluvanyuma yayimbulwa kakalu ka kkooti.

Kigambibwa Paasita olwava mu kkomera, yanoonya omuwala n’amutta ng’ali lubuto lwa myezi etaano (5).

Kkooti okusiba Paasita Nyanchwara emyaka 25, kidiridde omusomesa eyawumula Mathew Kikeu okuwa obujjulizi nti ye yalaba n’amaaso ge nga Paasita Nyanchwara atta omwana eyali muganzi we.

Omusomesa Kikeu agamba nti yasobola okuduka emisinde kuba singa Paasita Nyanchwara yamukwatako, yali asobola okumutusaako obulabe.