Mu nsi y’omukwano, buli musajja ayagala nnyo okufuna omukyala omulungi n’okusingira ddala ng’ategeera ensonga z’omu Kisenge era y’emu ku nsonga lwaki obwenzi bweyongera buli lunnaku.
Mu mbeera eyo, kigatto waffe mu ggwanga erya Tanzania, atugambye nti omuyimbi Diamond Platnumz alina omukyala omulala gwapepeya naye mu nkukutu.

Platnumz ne Tanasha
Platnumz ne Tanasha

Kimanyiddwa nti Platnumz n’omuwala Tanasha Donna bali mu laavu era kiri mu lwatu kyokka bambi mbu Platnumz alina abakyala abalala.

Kigatto waffe agamba nti Platnumz n’omuwala eyo waggulu bali ku lusegere nnyo era y’emu ku nsonga lwaki abantu abamu batebereza nti bali mu laavu.
Tekimanyiddwa ggwanga omuwala gyabeera wabula alabika bulungi kuba alina ebiiso ebirungi, akasusu, kikuba amazzi mu kidiba ekiwugirwamu ate kirabika kitegeera obukodyo obunyumisa akaboozi.