Kyaddaki obutakaanya ku ngabanya y’ensimbi eziva mu bivvulu by’omuyimbi  Patrick Senyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid buweddewo.

Okusinzira ku ndagaano eyateekeddwako emikono ng’ekulembeddwamu bannamateeka ba Onyango and Company Advocates, famire, Fresh Kid ne manejja Francis Kamoga bonna balina okufuna ku ssente.

Endagaano eraga nti taata Paul Mutabazi alina okubeera mu bifo byonna mutabani we Fresh Kid wageenda okuyiimba.

Taata Mutabazi alina okufuna ebitundu 20 ku 100 ku buli nsimbi Fresh Kid zakola buli kivvulu.

Fresh Kid alina okufuna ebitundu 20 ku 100, ku ssente eziva mu bivvulu era balina okuziteeka ku akawunti kwajja okuzijja nga awezezza emyaka 18.

Fresh Kid talina kuyimbira mu bbaala era talina kusukka ssaawa 4 ez’ekiro.

Manejja Kamoga alina okufuna ebitundu 20 ku 100 ku buli kivvulu ate ebitundu 30 ku 100 zirina okugenda mu kibiina kya De Texas Entertainment Fresh Kid mwayimbira.

Mu ndagaano, Maama wa Fresh Kid Madrine Namata alina okufuna ebitundu 10 ku 100, taata Mutabazi yekka yaalina obuvunaanyizibwa okutwala Fresh Kid ku ssomero.

Fresh Kid alina kuyimba ku wikendi, ennaku enkulu n’oluwumula.

Agaliwo galaga nti Fresh Kid yayitiddwa okuyimba mu kibuga Dubai kyokka ebiri mu ndagaano biraga nti taata Mutabazi alina okulinya ennyonyi okugenda n’omwana we kuba alina okuba mu buli kifo mutabani mwagenda okuyimba.