Kyaddaki Poliisi ayogedde amazima ku by’okukwatibwa kwa Paasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries International (HPMI) enkya ya leero.

Amawulire gakedde kusasaana nti Paasita Bugingo akwattiddwa bw’abadde yetekateka okugenda ku kkanisa Makerere Kikoni okusumba endiga za Kristu.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigyire, Bugingo tannakwatibwa era ebyogwerwa nti akwattiddwa enkya ya leero byabulimba.

Ate omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Afande Fred Enanga ayogedde ku basirikale abayiriddwa okwetoloola e Kkanisa ya Paasita Bugingo.
Enanga agamba nti bafunye amawulire nti waliwo abantu abateseteese okutataganya okusaba kwa leero era y’emu ku nsonga lwaki poliisi etwaliddwa ku kkanisa okunyweza ebyokwerinda.

Kigambibwa waliwo abakyala abagamba nti Paasita Bugingo asukkiridde okutyoboola ekitiibwa ky’abakyala nga yeyambisa obutakaanya wakati we n’omukyala Teddy Bugingo era bategese okulumba ekkanisa ye okulaga obutali bumattivu.