Kyaddaki Paasita Aloysius Bugingo owa House Of Prayer ministries, Makerere, kikoni ayitiddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Paasita Bugingo ayitiddwa mu woofiisi y’omuduumizi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Kaminsona Moses Kafeero, okulambikibwa ku bigambo bye ng’ali mu kkanisa.

Onyango agamba nti balina okulabula Paasita Bugingo okukomya okwogera ku nsonga z’amaka kuba ebigambo bye bikuma mu bantu omuliro n’okusingira ddala abakyala n’okusasamaza eggwanga.

Paasita Bugingo okwogera ku nsonga za mukyala we Teddy Bugingo nti yalina ekikulukuto okumala emyaka 10 y’emu ku nsonga lwaki abakyala bangi mu ggwanga lino bamutabukidde.

Eddoboozi lya Onyango