Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yayogeddeko eri eggwanga era yawadde bannansi amagezi ku nsonga ez’enjawulo n’okusuubiza ku bintu bingi.

Museveni agamba nti, “Tugenda kwongera okulwanyisa obumenyi bw’amateeka kuba bwe bubaawo kiremesa abalambuzi okujja mu bungi mu ggwanga ekiremesa eggwanga okufuna ssente mu by’obulambuzi.

Okuba nga kati buli muntu asobola okufuna yintanenti wonna w’ali, ekyo kibeera kya bugagga kuba kati emirimu mingi egisobola okuwa omuntu ssente ng’akozesa yintanenti”.

Mungeri y’emu yagambye nti bannayuganda bagagga nnyo kuba engoye n’engatto bye bambala bikolebwa bweru wa ggwanga. Ekibi ekiriwo nti ssente zonna kumpi zigenda mu China n’amawanga amalala agakola amasuuti, amataayi n’ebintu ebirala eby’enjawulo.

Pulezidenti Museveni era yagambye nti, “amawanga g’Afrika gabalibwa mu mawanga agakyakula mu nkulaakulana ekiraga nti tulina obusobozi okwongera okukulakulana naye tetukozeseza bulungi busobozi bwetulina, bannayuganda bangi beenyigidde mu bintu ebireeta ssente naye balemeddwa okutuukirizza ebintu eby’enjawulo ebyetaagisa omuli okufulumya ebintu ebimala”.

Ku nsonga y’okulwanyisa obwavu eri bannansi mu Uganda, Museveni agambye nti abantu balina okukola embalirira ku buli nsonga kuba kiyamba omuntu okwewala okumala gasaasaanya ssente.

Agamba nti obulimi n’obulunzi ky’ekimu ku kintu ekisobola okuggya Bannayuganda mu bwavu nga n’abo abeenyigira mu kulima, emmere emala okulyako wamu n’okutunda okufunamu ensimbi mu nsawo.