Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabudde Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga okukomya mu bwangu okusasaanya obulimba ku nsonga z’emwanyi mu ggwanga.

Gavumenti ereeta etteeka okuwandiisa abalimi b’emwanyi mu ggwanga lyonna okumanya omuwendo gwabwe wabula kigambibwa, mu tteeka mulimu obuwayiro nga buli mulimi w’emwanyi alina okufuna layisinsi emukiriza okulima emwanyi.

Ku nsonga eyo, Katikkiro Mayiga yavuddeyo okuwakanya etteeka okuwandiisa n’okuwa abalimi layisinsi mu ggwanga.

Mayiga agamba nti etteeka ligendereddwamu okulemesa abantu okulima emwanyi kuba kigenda kuba kizibu nnyo abalimi mu byalo okwewandiisa ate nga Buganda ebadde evuddeyo okubiriza abantu okulima emwanyi.

Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga mu makaage e Nakasero, yalabudde Katikkiro Mayiga okukomya obulimba mu bwangu ku tteeka lye mwanyi.

Museveni agamba nti tewali mulimi yenna gwe bageenda kuwa layisinsi wabula bonna balina okuwandisibwa okumanya omuwendo gwabwe kuba kigenda kuyamba nnyo eggwanga okwetekeratekera okuvuganya mu katale k’ensi yonna ku mwanyi.