Gavumenti mu ggwanga erya Zimbabwe evumiridde ekya Gavumenti ya America okuteeka envubo ku Minisita omubeezi ku nsonga y’obwokerinda Owen Ncube.

Sabiti ewedde ku Lwokutaano, Gavumenti ya America yafulumiza ekiwandiiko, ekiraga nti Minisita Owen asukkiridde okutwalira amateeka mu ngalo omuli okutyoboola eddembe ly’abantu omuli bannansi abekalakaasa ku nsonga ez’enjawulo mu mirembe, okutulugunya abakulira abakozi n’abakulembeze ku ludda oluvuganya n’okusingira ddala mu gwokusatu, 2019 mu kibuga Harare.

Wabula Minisita w’amawulire mu ggwanga erya Zimbabwe Nick Mangwana, agambye nti okuteeka envumbo ku bakulembeze mu Gavumenti ya Emmerson Mnangagwa, kigendereddwamu Gavumenti ya America okweyingiza mu nsonga za Gavumenti yaabwe ezitabakwatako.

Mungeri y’emu agambye nti envumbo za America tewali mukulembeze yenna gwe zigenda kutiisa kutambuza mirimu gye.

Kinnajjukirwa nti mu 2001, bangi ku bakulembeze mu kibiina kya Zanu-PF bateekebwako envumbo mu kiseera nga Robert Gabriel Mugabe kati omugenzi, akulembera eggwanga eryo era ku misango gy’okutulugunya bannansi.