Mwanamuwala eyadda mu kifo kya Zari Hassan, Tanasha Donna alaze ensi omwana wa bba Diamond Platnumz wakati mu ssannyu n’okulaga nti alina okuba maama omutuufu.
Tanasha yazaalira Platnumz omwana omulenzi wakati mu laavu era mwetegefu okulwanirira bba Platnumz obutatwalibwa mukyala yenna.

Tanasha okulaga nti musanyufu olw’ebibala bya waaya, asobodde okutwala omwana we ku mulimu era asobodde okweyambisa situdiyo ya laadiyo gyakolera okwekubya ekifaananyi ng’ali n’omwana wa bba Platnumz.

Platnumz abaana 4 mu bakazi 3 okuli Uganda, Tanzania ne Kenya.