Kyaddaki omulamuzi wa kkooti enkulu  e Mpigi, asindise mu kkooti enkulu, omukulu w’essomero lya Wamala Day and Boarding Secondary School, Asadu Wamala eyakwatibwa ku misango gy’okusobya ku baana abato n’okubatigaatiga.

Wamala abadde asibiddwa empingu asindikiddwa mu kkooti enkulu ne metulooni w’essomero Nansubuga Haliima ali ku misango gy’okuyambako, Wamala okusobya ku baana.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Justine Nakayiza, okunoonyereza kuwedde era betegese bulungi ddala, okutambuza omusango ogwo.

Oludda oluwaabi, lugamba nti mu October wa 2019 Wamala ng’asinzira ku ssomero lye e Mpambire mu Tawuni Kanso y’e Mpigi ng’ayambibwako metulooni we Nansubuga, yasobya ku bayizi babiri (2) okuli ow’e 16 ne 17 ssaako n’okutigatiga abalala nga bonna bayizi ku ssomero lye.

Kinnajjukirwa nti Wamala yasooka nakwatibwa kyokka bwe yatuusibwa mu kkooti, yavunaanibwa emisango gy’okutigatiga abayizi oluvanyuma kwe kusaba kkooti okumukiriza okweyimirirwa.

Wabula oluvanyuma ng’ayimbuddwa, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yayingira mu nsonga ezo, kwekulagira addemu akwattibwe era avunaanibwe.

Museveni yewuunya lwaki Wamala yali aguddwako gwa kutigatiga bayizi ate nga yali abasobezzaako era amangu ddala yaddamu naakwatibwa nga 28, November, 2019 e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luweero nga yekwese.