Abantu 15 bafudde, abasukka mu 10 bakyanoonyezebwa, eryato bwe ligudde mu nnyanja Mai-Ndombe mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo.

Kigambibwa eryato lyabaddeko abantu abasukka 30 nga bava mu kuziika era okusinzira ku bavubi, kiteeberezebwa nti eryato lyabadde mu mbeera mbi oba lyabaddeko abantu bangi.

Akabenje kagwaawo olunnaku olwa Mmande era Poliisi mu ggwanga eryo, etandiise okunoonyereza ekyavuddeko akabenje.

Abakugu ku nnyanja bagamba nti mu ggwanga erya Congo, bangi ku bannansi tebamanyi kuwuga era y’emu ku nsonga lwaki bangi bafa singa wagwawo akabenje ku nnyanja.