Gavumenti evuddeyo okulwanyisa okusengula abantu ku ttaka lyabwe mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo abatalina byapa ku ttaka.

Kinnajjukirwa nti mu October wa 2018, omugagga Medard Kiconco yasengula abatuuze abasukka mu 300 e Lusanja mu disituliki y’e Wakiso era abatuuze bali mu mbeera mbi nnyo omuli n’okufiirwa abaana baabwe.

Sabiti eno, abatuuze ku byalo 3 okuli Mulimira, Kisenyi One ne Old Kira Road Zone e Kamwookya, emitima gy’ongedde okubewanika lwa Kampuni ya Pearl Hope Investments okubawandikira ebbaluwa okwamuka ettaka mu nnaku 7 zokka.

Abatuuze b’e Kamwookya, bali ku bugazi bwa yiika 9 n’abatuuze abasukka mu 700 ssaako n’ekizimbe ‘Ssemakokiro Plaza’ eky’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Minisita Amongi
Minisita Amongi

Wabula enkya ya leero, Minisita w’ebyettaka, Betty Amongi Akena, alabudde abatuuze abalina okutya ku nsonga y’okusengulwa mu bukyamu ku ttaka lyabwe, okuddukira eri Resident District Commissioner (RDC) mu bitundu byaabwe okuyambibwa.

Minisita Amongi bw’abadde ku Media Centre mu Kampala, agambye nti ba RDC baafunye ebiragiro ebiggya ku ngeri gye balina okukwatamu ensonga z’ettaka okutuusa Gavumenti ng’erongosezza amateeka g’ettaka mu ggwanga.

Mungeri y’emu agambye nti bakooye abantu okusengulwa ku ttaka mu ngeri emenya amateeka.

Ebigambo bya Minisita Amongi kabonero akalaga nti awadde Bobi Wine n’abatuuze b’e Kamwookya amagezi okuddukira eri RDC w’ekitundu kyaabwe okwekubira enduulu ku kampuni ya Pearl Hope Investments eyalangiridde okubasengula mu nnaku 7.