Kampuni ya Crown Beverages Limited (Pepsi, Mirinda, Mountain Dew, Sting n’amazzi ga Nivana) esindise ekibinja ekisooka kya bawanguzi 13 mu kibuga Dubai okulya obulamu okumala ennaku 3 oluvanyuma lw’okuwangula mu Kampeyini ya Tukonectinge.

Mu Kampeyini ya Tukonectinge, abantu 25 bebalina okuwangula emmotoka, okutwala abantu 24 mu kibuga Dubai, okuwa abantu Firigi 24, Airtime ne Mobile Money.

Abatwaliddwa bavudde mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo omuli Jonan Atusigwire, Isaac Kyanzi, Andrew maweri, Muhammad Mukombozi, Mariam Bonitah Nakigudde, Gorreth Babirye Nazziwa, Paska Nyandira, Daniel Okori, Charles Ssemanda, Silage Teeka ne Walana George n’abalala.

Ku mukolo gw’okusibula abawanguzi mu Serena Hotel mu Kampala, omwogezi wa Crown Beverages Tracy Kakuru yagambye nti kampeyini ya Tukonectinge ekyagenda mu maaso okutuusa mu sabiti ey’okusatu mu July wa 2019 era ku lunnaku olwo, emmotoka ya 25 lwe bategese okugiwa omuwanguzi.

Mungeri y’emu akubiriza abantu okweyongera okunywa ssooda omuli Pepsi, Mirinda, Mountain Dew kuba kampeyini ya Tukonectinge ekyagenda mu maaso abantu okuwangula ebirabo eby’enjawulo.

Ate mukyala Gorreti Nazziwa omuwanguzi okuva e Mubende agambye nti okugenda Dubai mwe mulundi gwe ogugenda okusooka mu byafaayo bye okulinya ennyonyi era atendereza Kampuni ya Pepsi okutuukiriza ekirooto kye.

Mu kibuga kye Dubai, abawanguzi bagenda kubatwala mu bifo eby’enjawulo ebisanyukirwamu nga ku biiki, Hotero n’ebifo ebirala.