Kyaddaki mukyala wa MC Kats, Fille Mutoni myaka 28 avuddeyo ku bigenda mu maaso mu kiseera kino n’omwaka gwonna ogwa 2019 okutwaliza awamu.
Sabiti ewedde, MC Kats yalangirira nti alina sirimu era ali ku ddagala mu kiseera kino.

Okulangirira kwe, kigambibwa kwakosezza abantu bangi nnyo omuli famire ye, abaana be ne mukyala we Omuyimbi Fille kuba yatandiise dda okwewozaako nti wadde anyumizza ne Kats akaboozi emirundi egisukka mu 1000, talina bubonero bulaga nti naye mulwadde.

Fille asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okutegeeza nti omwaka 2019 gugenze ogugwako, ng’afunye okusomozebwa `okw’amaanyi era ng’ebigambo bimuweddeko.

Mungeri y’emu Fille agambye nti omwaka 2019, abadde ku kigezo olw’obuguminkiriza bwe, enzikiriza ye, naye ekirungi akyali mulamu.
Mu kiseera kino ensi yonna yakitegedde nti MC Kats mulwadde wa sirimu kyokka Fille agamba nti tanaba kwekebezza kawuka ka mukenenya era naye tamanyi oba mulwadde.
https://www.instagram.com/p/B6XpWeuFYc0/