Kyaddaki Omuyimbi Bebe Cool alangiridde okuyamba Edrine Katamba amanyikiddwa nga MC Kats singa anaakakasa nti ddala alina akawuka akaleeta siriimu.
MC Kats yalangiridde nti abadde ne sirimu emyaka 8 era abadde ku ddagala ly’ekinnansi kyokka ayongedde kunafuwa.

Wabula Bebe Cool agambye nti wadde akatambi kalaga nti MC Kats yalangirira nti alina sirimu, tekimala kumatiza bannayuganda bonna.
Bebe Cool agamba nti singa MC Kats akiriza okuvaayo mu lwatu, ye mwetegefu okumuwa obwa Ambasadda bwa kafuba (Tuberculosis TB).
Bw’abadde awayamu naffe, Bebe Cool era agambye nti MC Kats sereebu alina erinnya ate muvubuka muto, singa muwa obwa Ambasadda bwa kafuba, asobola okufunayo akasente ne kamuyamba okwejjanjaba n’okulabirira famire.
Obulwadde bwa kafuba butawanya nnyo abantu abalwadde ba sirimu era y’emu ku nsonga lwaki Bebe Cool agamba nti MC Kats bw’aba mulwadde, ye mutuufu okutwala obwa Ambasadda bwa TB.