Bannamateeka b’ekibiina ki NUP balemeddeko nga bagamba,tewali nsonga yonna, eyinza kulemesa muntu waabwe era Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuggya omusango mu kkooti ogw’ebyokulonda.

Kyagulanyi yali yaddukira mu kkooti ng’awakanya obuwanguzi bwa munna NRM era ssentebe w’ekibiina Yoweri Kaguta Museveni wabula omusango yasabye, guveeyo mu kkooti sabiiti ewedde, olw’abalamuzi okumulemesa okutwala obujjulizi mu kkooti ssaako ne kkooti okulaga nti teyetengeredde mu ntambuza y’emisango.

Olunnaku olw’eggulo, kkooti yalangiridde ku Lwokuna nga 4, omwezi guno Ogwokusatu, okuwuliriza okusaba kwa Kyagulanyi, oluvanyuma lw’okusaba kwe okuteekebwa ku kyapa kya Gavumenti ky’oyinza okuyita ‘Gazette’ olunnaku olw’eggulo.

Wabula wakati mu kwetekateeka nga bannamateeka ba Kyagulanyi balindiridde olunnaku Olwokuna, okuwa ensonga zaabwe lwaki balemeddeko okuggya omusango mu kkooti, munnamateeka Anthony Wameli agamba nti buli kimu kyawedde dda.

Wameli agamba nti Kyagulanyi alina okuggya omusango mu kkooti nga tewali ayinza kumulemesa wabula kkooti okunoonyereza lwaki omusango gugiddwawo ssaako n’okumulagira okuwa engasi ku nsimbi ezisasaanyiziddwa ku bantu beyatwala mu kkooti omuli Museveni, akakiiko k’ebyokulonda ne Ssaabawolereza wa Gavumenti.

Related Stories
ANTI KALE! Mugume temugenda kufa, abasawo bagumizza abantu ku AstraZeneca wa Covid-19

Mugume temugenda kufa lwa AstraZeneca wa Covid-19 Okutya kweyongedde mu ggwanga Uganda olw'abantu abeyongera okufa Read more

Fire Destroys Condoms, Mosquito Nets At JMS Ware House In Industrial Area

Fire Destroys Condoms A fast spreading fire has on Friday afternoon gutted ware houses on Read more

Ku bya Willy Mayambala omu ku baali besimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okuwedde, okulaga nti omusango ogwetaaga, Wameli agamba nti Mayambala alina okuteekayo okusaba kwe mu butongole era singa akkirizibwa, Kyagulanyi aguvaamu, Mayambala nagusigalamu.

Wameli one Final