Eby’omugagga Charles Olim amanyikiddwa nga Sipapa sibirungi, munnamagye Lt Gen. Proscovia Nalweyiso bw’avuddeyo ne bwiino ku nsonga y’obubbi.

Sabiiti ewedde ku Lwokutaano, Sipapa yasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 19, omwezi guno Ogwomwenda, 2022 ku misango mukaaga (6).

Kigambibwa Sipapa y’omu ku bakkondo, abenyigira mu kumenya ennyumba omugagga, munnansi wa South Sudan Jacob Arok, mu kiro kya 28 – 29, omwezi oguwedde Ogwomunaana, e Kawuku, Bunga mu bitundu bye Makindye ne batwala ebintu ebyenjawulo.

Okunoonyereza kulaga nti Sipapa ne banne batwala ebintu omuli ssente Biriyoni emu n’obukadde 600 n’okusoba, amassimu ga iPhone 4, kompyuta za Laptop ekika kya Apple 2,  ebikomo bya zzaabu eby’enjawulo nga bya mukyala, ttiivi ya Flat Screen ekika kya Sumsung n’ebintu ebirala.

Sipapa kati ali Luzira

Poliisi egamba nti baasobola okweyambisa Kalifoomu, okumenya okutwala ebintu ebyo.

Wabula mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Makindye Patience Tukundane, Sipapa ne mukyala we Nakiyimba Shamirah, baguddwako emisango gy’okubbisa eryannyi nga beyambisa ebiragala omuli Kalifoomu.

Munnamateeka we Abed Nassar Mundyobole agamba nti empalana n’eby’obufuzi y’emu ku nsonga lwaki Sipapa yakwatiddwa naye si musajja mubbi. Agamba bagenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga basaba kkooti abantu baabwe okweyimirirwa.

Munnamateeka era agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe, tebirina bujjulizi bulaga nti ddala Sipapa yenyigira mu kubba Arok.

Awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okunoonyereza lwaki Arok, yali ateeka ssente wansi w’ekitanda n’okulaga obujjulizi obulaga nti ddala ssente yazirina.

Poliisi yazuula ddoola 70,000, amassimu ga Iphone 4, laptop 3, ebikomo bya zzaabu, ennamba z’emmotoka ez’enjawulo n’ebintu ebirala mu maka ga Sipapa ku kyalo Buwate mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso.

Gen. Nalweyiso

Wabula Lt Gen. Nalweyiso agamba nti amaze ebbanga nga yenyigira mu kulondoola n’okulwanyisa Sipapa.

Agamba nti y’omu kw’abo, abalagira Sipapa okugibwako abasirikale.

Lt Gen. Nalweyiso agamba nti Sipapa musajja mubbi ng’alina akabinja k’ababbi abasukka 30 abenyigira mu kubba, bayingirira abantu ne babba ssente, amassimu, Laptop, emmotoka ssaako n’ebintu ebirala.

Mungeri y’emu Lt Gen. Nalweyiso agamba nti Sipapa tewali kubuusabuusa wadde okuwayiriza, musajja mubbi.

Awanjagidde bannayuganda okuvaayo okulwanyisa abantu nga Sipapa abeyongedde obungi mu ggwanga nga beeyita kye batali.

Vidiyo

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q