Kyaddaki Pasita Jackson Senyonga owa Christian Life Church, Bwaise avuddeyo ku bigambibwa nti aliko abantu beyawa ssente, okulumiriza Pasita Robert Kayanja owa Lubaga Miracle Centre Cathedral okubalya ebisiyaga.

Mu kkooti e Mengo, abantu 9 bali ku misango gy’okuwayiriza Pasita Kayanja okubalya ebisiyaga n’ekigendererwa eky’okusiiga enziro ekkanisa ne Pasita.

Mungeri y’emu bali ku misango gy’okuwa Poliisi amawulire ag’obulimba.

Sam Magomu myaka 26 nga mukuumi ku kkanisa ya Pasita Kayanja, yawa obujulizi mu September, 17, 2021 mu maaso g’omulamuzi Adams Byarugaba nti Pasita Ssenyonga yali amusuubiza ssente n’okufuna paasipooti okugenda ebweru w’eggwanga singa bakola bulungi omulimu gw’okulumiriza Pasita Kayanja.

Pasita Kayanja

Mu kkooti, Mugoma yategeeza nti yagenda ku kkanisa ya Pasita Kayanja mu 2016 era oluvanyuma yamusaba okuba omukuumi ku kkanisa.

Yamutwala okufuna okutendekebwa mu ttendekero lya Poliisi e Kabalye oluvanyuma yabawa emirimu nga Reagan Ssentongo yakulira abakuumi.

Agamba yafuna essimu okuva eri Ssentongo nga waliwo akalimu akayinza okubawa ssente singa bavaayo mu lwatu okulumiriza Pasita Kayanja okwenyigira mu kulya ebisiyaga.

Amangu ddala, nga bavuddeyo okulumiriza Pasita Kayanja, Manegimenti ya Pasita Kayanja yakubira Poliisi essiimu era amangu ddala baakwatibwa ku misango gy’okutambuza obulimba.

Agamba nga bali ku Poliisi ya Kampala Mukadde, omu ku basibe Mwanda yalina essimu era yakubira Pasita David Kiganda, Pasita Ssempa ne Sylvia Namutebi amanyikiddwa nga maama Fiina, okubategeeza nga Pasita Kayanja bwe yali abasobezaako kyokka bakwatiddwa.

Abantu bazze nga beyongera okuvaayo nga balumiriza Pasita Kayanja okubalya ebisiyaga.

Wabula ate abamu bagamba nti Pasita Senyonga yabawa ssente okulumiriza Pasita Kayanja.

Wadde ebigambo byogeddwa era bitambula, akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano, Pasita Senyonga yayogeddeko eri bannamawulire ku Kkanisa e Bwaise, okulaga eggwanga ekituufu.

Pasita Jackson Senyonga

Pasita Senyonga yawakanyiza ebigambo ebiri mu kutambula nti alina abantu beyawa ssente okulumiriza Pasita Kayanja oba munnadiini yenna.

Agamba nti wadde ebigambo byogerwa nti waliwo abantu abasobezebwako Pasita Kayanja, talina muntu yenna gwe yali awadde 100, okusiiga erinnya ly’omuntu yenna enziro.

Pasita Senyonga asabye offiisi ya ssaabawaabi ba Gavumenti (DPP) okunoonyereza ennyo okuzuula oba ddala waliwo abavubuka abasobezebwako okusinga okulowooza nti bonna balimba.

Agamba bwe kiba kituufu waliwo abaasobezebwako, balina okunoonyereza, okuzuula ani yakikola kuba bayinza okuba balina bwiino nga betaaga obwenkanya.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=faaktnsgW2Y