Poliisi mu bitundu bye Jinja ekutte owa bodaboda Ali Kiwanuka myaka 29 abadde asobya ku bakyala n’okubba ebintu byabwe.

Kiwanuka nga mutuuze ku kyalo Nawanganda – Namatoro, mu ggoombolola y’e Busede mu disitulikiti y’e Jinja abadde avugira Pikipiki mu bitundu bye

Iganga, Mayuge, Luuka, Jinja city, Jinja, Njeru

Mu kiro kya 21, May ne 22, May, 2024, waliwo omukyala 25, eyasanga Kiwanuka mu kibuga Jinja.

Yamusaba okumutwala mu Tawuni Kanso y’e Buwenge mu disitulikiti y’e Jinja ne bakaanya ssente 15,000.

Wabula Kiwanuka bwe yatuuka mu kibira ‘Nile ply forest’ e Mutai ku luguudo lwa Jinja – Kamuli, Kiwanuka yasaba omuwalam omukwano mu nsiko, omuwala nagaana.

Amangu ddala Kiwanuka yakuba Pikipiki ekigwo, natwala omuwala mu nsiko era bwatyo yamusobyako era yamusuubiza okumutta singa agezaako okukuba enduulu.

Oluvanyuma yatwala essimu ye ekika kya Infinix.

Mu kunoonyereza, Poliisi yasobodde okuzuula essimu nga yasangiddwa ne Kiwanuka bwe yabadde atadde layini y’essimu ye nga ne Pikipiki ekika CT 125 namba UFX 657Z.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira, agamba nti Kiwanuka agenda kutwalibwa mu kkooti amangu ddala nga bakomekereza okunoonyereza.

Mubi agamba nti omuwala ateekeddwa ku ddagala lya Exposure Prophylaxis (PEP) okumutaasa okufuna obulwadde.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=QCtx2J6f1ng