Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza okuzuula abantu bonna abali mu katambi akali mu kutambula ku mikutu migatta bantu.

Mu Katambi, Poliisi ezudde nti omusajja eyakubiddwa ye Mugisha Tomson myaka 40, omutuuze we Kyebando.

Yakubiddwa abantu abatamanyiddwa ku luguudo lwa  Ben Kiwakuka ku ssaawa nga 2 ez’ekiro ku Lwokusatu, nga 22, May, 2024.

Mu katambi, Mugisha yatwaliddwako ensawo.

Mu sitetimenti ku Poliisi, Mugisha agamba nti yabadde ne ssente 450,000 zonna zatwaliddwa, ebiwandiiko eby’enjawulo mu nsawo, ebisumuluzo n’ebintu ebirala.

ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti ekitebe kya Poliisi mu Kampala (CPS) kiyingidde mu nsonga ezo, okunoonyereza okuzuula ekituufu.

Mu kiseera kino Poliisi ekutte abantu babiri (2), okuyambako mu kunoonyereza okuzuula abantu bonna abali mu katambi.

Owoyesigyire asabye abantu buli omu okuba mbega wa munne okuyambako okulwanyisa ebikolwa by’obubbi mu Kampala.

Vidiyo!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=QCtx2J6f1ng