Abatuuze b’e Kagoma mu ggombolola y’e Nabweru mu disitulikiti y’e Wakiso bakeeredde mu ntiisa ey’omwana eyabula okusangibwa nga yattiddwa mu bukambwe.

Omwana Betty Nalwanga ew’emyaka etaano (5) yasaliddwako ebitundu by’ekyama era omulambo gusangiddwa ku kyalo ekiriraanye kwabadde abeera.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, omwana Nalwanga yabula okuva ewa Ssenga we Florence Nantale ku Mmande ya sabiti eno, nga 16, December, 2019 ku ssaawa 4 ez’ekiro.

Ku ssaawa 5 ez’ekiro Ssenga Nantale yategeera nti omwana abuze, kwekuddukira ku Poliisi y’e Kagoma, okuyambako mu kunoonyereza.

Onyango agamba nti omulambo gutwaliddwa e Mulago okwekebejjebwa nga Poliisi bwenoonyereza okuzuula ekituufu n’okukwata abantu bonna abenyigidde mu kikolwa ekyo.

Ate abatuuze bagamba nti kirabika omwana yasaddakiddwa era omulambo wegusangiddwa kitebeerezebwa gwasuliddwawo.

Mungeri y’emu, abatuuze bagambye nti omwana yava Kikooza mu disitulikiti y’e Luweero okugenda e Kagoma okuwumula.