Akulembera akabinja ka bodaboda 2010, Abdullah Kitatta enkya ya leero bamukomyawo mu kkooti y’amaggye e Makindye okuddamu okuwuliriza obujjulizi obuletebwa ku misango egyamugulwako omuli okusangibwa n’ebyokulwanyisa.

Omulundi ogwasembayo omweezi ogwokutaano, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Maj Raphael Mugisha, lwaleeta omujjulizi Private Richard Kasajja, omusirikale mu kitongole ekikesi ekya CMI.

Private Kasajja yategeza nti Kitatta bamukwatira mu kabuyonjo ku Vine Hotel e Wakaliga mu ggoombolola y’e Rubaga, nga 20, Janwali 2018.

Mu kkooti, Kasajja yaleeta ebizibiti ebyasangibwa ne Kitatta omwali emmundu, amasasi ate mu woofiisi za Bodaboda 2010 e Wakaliga mwasangibwamu, Uniform z’amaggye 2, enkofira 7, ebyavirako Kitatta okuyunguka amaziga.

Kkooti era yagaana Kitatta okweyimirirwa kuba singa kikolebwa, ayinza okudduka mu ggwanga kuba emisango egyamugulwako gya naggomola nga singa gimusinga, ayinza okusibwa amayisa.

Lt. Gen. Andrew Gutti
Lt. Gen. Andrew Gutti

Mungeri y’emu ssentebbe wa kkooti Lt. Gen. Andrew Gutti, yategeeza nti Kitatta, alina enkolagana n’abakulu mu kitongole kya Poliisi nga singa ayimbulwa ayinza okutaataganya okunoonyereza.

Olunnaku olwaleero, bannamateeka ba Kitatta nga bakulembeddwamu Shaban Sanywa basubirwa okufuna obudde okubuuza ebibuuzo, Private Kasajja ku bizibiti, ebyaletebwa mu kkooti.

Kitatta agenda kugibwa ku Limada ku kkomera ly’amagye e Makindye ate banne 12 abali ku misango gye gimu bagenda gugibwa ku Limanda mu kkomera e Luzira.