Omuyimbi Winnie Nwagi y’omu ku bakyala mu Uganda abasobodde okufuna obuwagizi olw’ennyimba ze n’omubiri gwe.

Nwagi amanyikiddwa nnyo olw’ennyimba okuli Musawo, Fire Dancer, Kano Koze, Katono Katono, Munange, Olukoba n’endala sako n’okweyambisa omubiri gwe okukyamula abantu mu vidiyo olw’engeri gyakyusa ekiwato.

Ku mukutu ogwa Instagram, Nwagi ataddeyo vidiyo ng’ali ne mikwano gye mu situdiyo kyoka omu ku bbo, basobodde okuzina sikwizi nga tebalimu kutya kwona.

Abamu ku bagoberezi be bagambye nti omwana alina Work olw’engeri gyakyusa ekiwato mu maaso g’abasajja.

Nwagi asobodde okweyambisa omukutu gwe ogwa Instagram okusiima mikwano gye okumuwa essannyu “Munda yange yo burning, I’ve surely had a great time guys… Thank u”.