Bannabyabufuzi abagundivu mu Monisipaali y’e Mityana ssaako n’abasuubuzi bawanze eddusu ku Luzzi Abraham okubakwatira bendera mu kalulu ka 2021 ng’omubaka wa Palamenti mu kitundu kyabwe.

Luzzi naye musuubuzi akola emirimu egyenjawulo, eyakoledde erinnya mu kuyamba abatuuze mu bitundu bye Mityana omuli okuteekawo embeera y’okulwanyisa ebbula ly’emirimu ng’ayita mu kutumbula talenti.

Bannabyabufuzi n’abasuubuzi bagamba nti omubaka Zaake Francis Butebi bukya alondebwa, alemeddwa okuyamba ekitundu kyabwe era 2021, balina okumusindikiriza.

Omusuubuzi Luzzi
Omusuubuzi Luzzi

Wakati mu kuwaana Luzzi, bagambye nti bukya Zaake alondebwa ali mu bya People Power, kugenda mu kirabu ezaamannya okukyakala ne famire ye, tebalina muntu ategeera nsonga zaabwe kuba asiiba mu Kampala n’abawagizi ba People Power, ebintu ebitabayamba.

Mu kiseera kino Mityana awuuma era abalonzi bafunye essuubi nti 2021, bafunye omuntu omutuufu okutwala ensonga zaabwe mu Palamenti kuba omubaka Zaake abadde yefaako yekka n’okunaawuuza entalo.

Luzzi musajja wa NRM era agamba nti bategese bulungi ddala, 2021 okukwata obuyinza, okuggya abalonzi b’e Mityana mu buwambe bwa Zaake.

Okusoma kwe, musajja muyivu nnyo era agamba nti wakati wa 1999 – 2005, yali muyizi ku Kawempe Muslim Secondary School, oluvanyuma yafuna diguli mu kugula n’okutunda (Logistics) ku yunivaasite y’e Nkumba.