Waliwo ekiteeso ekigenda okuleetebwa omubaka akiikirira munisipaali y’e Kira Kira mu palamenti Ibrahim Ssemujju Nganda ng’ayagala gavumenti ekomye okugulira abakozi baayo ne bannabyabufuzi emotooka ez’obwerere wabula bazibawe bazisasule mu nkola eyakibanja mpola.

Okusinzira ku Ssemujju, buli mukozi wa gavumenti anaawebwa emotooka wakuwebwa emyaka ena okujjisasula, nga ensimbi zisalwa ku musaala gwe.

Mungeri y’emu agambye nti Gavumenti esasaanya ensimbi mpitirivu nnyo mu kugulira abakozi emotooka, okubawa amafuta, okuzirongoosa ate nga bafuna omusaala omulungi nnyo mu ggwanga lino.

Ekiteeso kino kyamaze dda okuluma ku lukalala lwebyo ebirina okwanjibwamu palamenti.