Bye Steven Kyeyune

Mu butonde omukyala yenna singa afuna omusajja alina omukwano ng’ategeera okukuba amatooke, akamwenyumwenyu keyongera ku matama. Ennaku zino n’omuyimbi Rema Namakula takyalina birowoozo kuba bba Eddy Kenzo mwaali mu ggwanga era kirabika ebintu ebitambuza bulungi, ekiwadde omukyala (Rema) essanyu.

View this post on Instagram

A post shared by Rehemah Namakula πŸ‡ΊπŸ‡¬ (@remah001)

Rema eyakuyimbira Tikula, Lean on Me, Banyabo, Akatonotono n’endala, omwaka 2018 agutandise alisa buti era kirabika talina nnyota ya mukwano kuba ebintu abifunira ddala, okusinga omwaka omukadde ogwa 2017.