Dereeva wa Takisi asindikiddwa mu kkomera e Luzira okumala sabiti satu (3) nga bamulanga kuvuma basabaze mu Kampala abaali mu takisi.

Swaleh Lukyamuzi asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Patrick Talisuna owa City Hall mu Kampala era akirizza omusango.

Okusinzira ku ludda oluwaabi okuva mu kitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA), nga 15, January, 2019 sabiti eno ku lunnaku olwokubiri ku Burton Street mu Kampala, Lukyamuzi yavuma abasabaze n’okubatiisatisa, ekyaleeta akajjagalalo okumala akaseera akawera, ekintu ekimenya amateeka.

Lukyamuzi asindikiddwa e Luzira okumala sabiti 3 okuba eky’okulabirako eri abantu bonna, abali mulimu gwa takisi.