Kyaddaki omuyimbi Sheebah Kalungi avuddeyo ku bigambibwa nti y’omu ku bayimbi abakyala abasiinga okusasaanya obuseegu ng’ayita mu vidiyo, ku siteegi ng’ayimba n’engeri endala.

Mu Janwali, Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’obuwangwa mu minisitule y’ekikula ky’abantu n’abakozi, Peace Regis Mutuuzo yayanjula obukwakulizo obwenjawulo, okulambika ekisaawe ky’okuyimba era bangi ku bayimbi bavaayo okuwakanya ebirowoozo bya Minisita.

Minisita Peace Regis Mutuuzo
Minisita Peace Regis Mutuuzo

Mu bukwakulizo obusukka mu 10, abayimbi balina okwambala obulungi era tewali muyimbi yenna alina kulinya ku siteegi ng’ayambadde mu ngeri yonna eyesitaza mu bantu ne mu baana omuli obugoye obumpi.

Abamu ku bannayuganda bagamba nti abayimbi omuli Sheebah Kalungi ne Cindy Sanyu bebagenda okusiinga okukosebwa kuba bebasiinga okwambala obugoye obumpi.

Wabula Sheebah abanukudde era agambye nti y’omu ku bayimbi abasiinga okwambala obulungi kuba takunama.

Sheebah agamba nti talina kutya kwona ku tteeka okulambika abayimbi mu by’okwambala kuba ye mukyala ayambala bulungi nnyo.

Ebigambo bya Sheebah biraga nti ayanukudde Minisita Mutuuzo ku tteeka eritangira abayimbi okwambala enkunamyo.