Kyaddaki omu ku bakyala ba Abdullah Kitatta owa Bodaboda 2010, Nagujja Aisha Kitatta agamba nti Gavumenti ya NRM obutagala Basiraamu Abaganda y’emu ku nsonga lwaki bba yasindikiddwa e Luzira.

Kitatta n’eyali omukuumi we Ngobi Sowali basingisiddwa emisango ebbiri egy’okusangibwa n’emmundu ssaako n’amasasi mu ngeri emenya amateeka.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, Kkooti y’amaggye eyabadde ekubirizibwa ssentebe, Lt Gen Andrew Gutti, yasalidde Kitatta ne Ngobi, ekibonerezo buli omu kyakumala ku mmeere e Luzira emyaka 8, emyezi 8 n’ennaku 6.

Kitatta mu kkooti
Kitatta mu kkooti

Wabula mukyala wa Kitatta Aisha agamba nti tewali nanyini nsi kuba ne Muammar Mohammed Abu Minyar Gaddafi owa Libya yafa, Omar al-Bashir owa Sudan bamututte talinya era alina esuubi nti ne Kitatta mu kkomera aggya kuvaayo.

Mungeri y’emu akuutidde Abasiraamu nti ekikoleddwa ku Kitatta, kabonero akalaga nti Gavumenti teyagalira ddala Abasiraamu Abaganda kuba yalemwa okumanya abantu baakolagana nabo.

Aisha wakati mu nnyike agamba nti balina okweyambisa akaseera kano okusabira Kitatta okuvunuka okusomoozebwa kwayitamu.

Eddoboozi lya Nagujja Aisha Kitatta